Club ya Vipers egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, eri munteseganya ez’omuggundu okuzza obuggya endagaano y’omukwasi wa goolo munnansi wa Dr Congo Alfred Mudekereza.
Endagaano ya Alfred Mudekereza yaweddeko mu June 2025, wabula Vipers netegefu okugyongezayo.
Yegatta ku Vipers mu July wa 2022 ku ndagaano ya myaka 3.
Ajjukirwa nnyo olw’obukugu bwe yayolesa mu kwata peneti Vipers bweyali ewandulamu club ya TP Mazembe eya DR Congo okusobola okukiika mu mpaka za CAF Champions League omutendera gw’ebibinja, omulundi gwa Vipers ogwasookera ddala mu season ya 2022/23.
Alfred Mudekereza ebbanga lye yakamala ku Vipers abawangulidde ebikopo bya liigi 2 ne Uganda Cup 2.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe