Club ya Villa Jogo Ssalongo egucangira mu liigi ya babinywera eya Uganda Premier League, ekakasiza nga bwezeyo mu maka gaayo age Wankulukuku oluvanyuma lw’okumala ekiseera ng’ekisaawe kiddaabirizibwa.
Villa Jogo Ssalongo ebadde tekozesa kisaawe kye Wankulukuku okuva emipiira egy’oluzannya olw’okuddingana olwa liigi ya season lwe gyatandika, era emipiira ebadde egikyaliza mu kisaawe kye Luzira.
Wabula kati Villa Jogo Ssalongo ekakasiza nti omupiira gwayo oguddako ogugenda okuzannyibwa ku Sunday eno nga 09 February, ng’ettunka ne Maroons, gugenda kubeera mu kisaawe kye Wankulukuku.
Wabula era omupiira guno gubadde gwakuzanyibwa ku lw’omukaaga luno nga 08, wabula gukyusiddwa okudda ku Sunday nga 09 okuwa omwaganya ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eyabawala abatasusa myaka 17 eya Teens Cranes okuzannya ne ne Kenya mu mpaka za FIFA U17 Women’s World Cup Qualifiers.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku lw’omukaaga luno nga 08 mu kisaawe e Nakivubo, nga n’olwekyo abakulu baagadde abawagizi okujjumbira omupiira guno.
Omupiira ogw’oluzannya olwasooka wakati wa Maroons ne Villa gwa gwera mu maliri ga goolo 1-1 e Luzira.
Villa Jogo Ssalongo mu kiseera kino ya 8 n’obubonero 24 mu liigi, ate nga Maroons ya 9 nayo n’obubonero 24.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe