Abapangisa ne bannyini bizimbe ebipangisibwa mu Kampala batabukidde ekitongol ekiwooza kyómusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority nga bagala kikangavvule abamu ku bakozi baakyo abasusse okubatulugunya, saako enkola ye kitongole kino etali nambulukufu okwawula omusolo gwe bizimbe ogulina okusasulwa mu URA ne kitongole kya KCCA.
Babadde.mu lukungaana olwategekedwa ekitongole kya URA ne bannyini bizimbe ebipangisibwa mu magombolola okuli Central, Nakawa ne Lubaga okubalambika ku nteekakateka eyómusolo gwa mayumba ogwe bitundu 12% buli nnyini mayumba gwateekedwa okusasulira ennyumba ze.
Okusinziira eku kitongole kya URA, buli muntu alina ennyumba z’abapangisa ateekeddwa okuzisasulira omusolo gwa bitundu 12% eri abapangisa omuntu sekinoomu, sso nga abapangisa amakampuni bateekeddwa okusasula ebitundu 30% ku nsimbi ezóbupangisa buli mwaka.
Wabula buli nnyini kizimbe wakusasula omusolo oluvanyuma lwókuggyako ensasanya ya bitundu 25% emusobozesezza okuyimirizaawo ekizimbe kye buli mwaka.
Ekitongole kino era kiteekateeka okubala ebizimbe byonna mu Kampala ebipangisibwa okuzuula bannyini byo saako ensimbi zebiteekeddwa okusasula.
Wabula bannyini bizimbe ebipangisibwa mu bitundu ebyetooloode Kampala balaze obutali bumativu bwabwe nga bagamba nti omusolo gwebasasulwa tewali kyebagufunamu saako abagusolooza okubakambuwalira.
Wabula Senkulu we kitongole ekivunanyizibwa ku musolo ekya URA John Musinguzi alambise nti abantu abalina amayumba agavaamu ensimbi ezikkawansi we mitwalo 235,000/= buli mwaka tebateekeddwa kusasula musolo guno.
Musonguzi era asuubizza okutereeza empereza zaabwe omuli nókubonereza abamu kubakozi abenyigira mu bikolwa ebyekko nga bakola emirimu.
Bisakiddwa: Ssebuliba William