URA erumbye Wakiso Giants omwayo n’egikubirayo goolo 3-0.
Omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Kabaka Kyabaggu e Wakiso.
Goolo eziwadde URA obuwanguzi ziteebeddwa Ivan Ahimbisibwe ateebyeko goolo 2 ne Godfrey Ssekibengo goolo 1.
Kakaano Wakiso Giants mu mipiira 10 gye yakazannya etebedwamu goolo 17, era nefuuka ttiimu ekyasinze okutebwa goolo ennyingi sizoni eno.
Wakiso Giants yagenze okujja mu mupiira guno, nga Villa Jogo Ssalongo yakamala okugikuba goolo 6-1 mu kisaawe e Wankulukuku.
Kakaano URA egenze mu kifo kya 5 n’obubonero 14 ate nga Wakiso Giants kati ya 13.
Omupiira omulala oguzannyiddwa, UPDF egudde maliri ne Police goolo 2-2 mu kisaawe e Bombo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe