Ekitongole ekivunanyizibwa ku bibuuzo ebyakamalirizo mu ggwanga ekya UNEB, kifulumizza ebyava mu bigezo by’abayizi ba S.6 abaabituula mu 2024, kiraze nti abayizi 1,632 bebaagudde ebibuuzo kwabo abayizi emitwalo 140,888 abaatula.
Ebigezo bino bifulumiziddwa minister w’ebyenjigiriza n’emizannyo era mukomukulembeze w’eggwanga Janet Kataaha Museveni.
Abayizi abagudde beeyongeddeko obungi bwogerageranya naabo abagwa mu mwaka 2023, nga abaagwa mu mwaka ogwo baali 865 bokka kwabo abayizi emitwalo 109,486.
UNEB egamba nti wadde abayizi bangi bagudde, ebitundu 98.8% kwabo abaatula ebibuuzo baafunye obubonero obusobola obubongerayo mu mitendera ejiddako egy’okusoma.
Omuyizi okweyongerayo mu mutendera oguddako kimwetaagisa okufuna waakiri Principle Pass bbiri mu masomo gaabadde akola, kko n’okuyita olupapula lwa General Paper, ICT oba Sub Math.

Dan Odongo agambye nti abayizi emitwalo 92,273 byebitundu 66% bayise okweyongera okugenda mu University, ssonga omugatte abayizi emitwalo 121,506 byebitundu 86.2% bebasobola okwegatta ku matendekero agawaggulu gonna okutwalira awamu.
Dan Odongo mungeri yeemu annyonyodde nti abayizi abawala bakoze okukira ku balenzi naddala mu kuyita ne Principle Pass essatu, ebbiri ate abalenzi bakize mu kuyita ne Subsidiary Pass ne Principle Pass emu.

Odongo agambye nti abawala era mu masomo ga Arts baakoze bulungiko okukira ku balenzi, so ng’abawala abakola science ate bbo bakyali batono bw’ogerageranya n’abalenzi.
Odongo agambye nti waliwo ebibuuzo byabayizi okuva mu Centers 38 ebikyakwatiddwa kwezo centers e 2,255 ezaatuulibwamu ebibuuzo nga bano bateeberezebwa okwenyigira mu kukoppa.
Bisakiddwa: Ddungu Davis