Akakiiko keby`okulonda mu kibiina kya UPC kasunsudde Jimmy Akena ne Enap Adim Dennis, okuvuganya ku bwa president bw’ekibiina kino, n`okulondako anaakwatira ekibiina kyabwe bendera u bukulembeze bwe ggwanga.
Hajji Kazimbiraine Mahmoud akulira akakiiko keby`okulonda mu kibiina kya UPC, agambye nti abantu basatu bebaggyayo empapula okuvuganya u bwa president bwa UPC, wabula babiri boka bebaazikomezaawo era nebasunsulwa.
Ow`okusatu eyaggyayo empapula naye natazikomyawo, ye Moses Higenyi Kemba.
Hajji Kazimbiraine ategezeeza nti bano ababiri abasusunddwa, anayitamu yagenda okubeera president wa UPC emyaka 5 egiddaako, ate era yagenda okukwatira ekibiina kino bendera ku bwa president mu kalulu ka 2026.
Bisakiddwa: Musisi John