President Yoweri Kaguta Museveni alabudde abakungu mu government ebeebakira ku mirimu naanokolayo ministry y’amazzi, Amasanyalaze, URA n’abalala nti abatudde obutuuzi nga bamusiga nsimbi abajja okujuna eggwanga lino babonaabona n’ebintu government byesobola okukolako mu lutemya lwa liiso.
Museveni bino abyogeredde ku Kyalo Kiramata ekisangibwa mu gombolola ye Nabiswera mu district ye Nakasongola, bw’abadde aggulawo ekkolero eryongera omutindo ku kirime kya muwogo erimanyiddwa nga Pura Organic Agro Tech Limited.
Ekkolero lino likola tanni za starch okuva mu muwogo eziri eyo mu 1200 buli mwezi , ngono akozesebwa mu makolero agenjawulo okugeza agakola empapula oba ebitabo, engoye, Amanda ga briquettes, nendala ng’atundibwa mu Uganda n’amawanga agaliranyewo kyokka likyasomozebwa amazzi, amasanyalaze, omusolo n’ebilara.
Ivan Akwandanaho, ngono y’akwasaganya abalimi b’omukitundu abayitibwa ba out growers agamba nti balina yiika z’ennimiro za muwogo eziri eyo mu 600 atenga bayambako n’abalimi abenjawulo abaliranyewo okulima muwogo ali ku mutindo, nga babawa ebikozesebwa nga tractor, ebigimusa, okubasomesa ku nnima enungi n’ebirala.
Ssentebe wa district ye Nakasongola Sam Kigula akubiriza abalimi be Nakasongola okwongera okulima muwogo basobole okukyusa obulamu bwabwe wadde nga ssibamativu ne nnusu ebibiri (200) bamusiga nsimbi bano zebaggula kilo ya Muwogo omubisi.
President Museveni akomekkereza okulambula ekitundu kye Luweero n’emiriraano gy’amaze ennaku 3, ng’akubye olukuηaana ggaggadde ku kisaawe kye Wabinyonyi e Nakasongola.
Bisakiddwa: Taaka Conslanta