Makerere University Business School, (MUBS) e Nakawa atikkidde abayizi abasobye mu 510 mu masomo ag’ebyemikono n’agomutwe.
Abayizi abatikiddwa abasinga bafunye obuyigirize naamabaluwa ag’omutendera ogusooka ogwa Certificate ne Diploma, mubaddemu abasibe mu kkomera e Luzira, abawereddwa amabaulwa mu bukugu obwenjawulo.
Bwabadde akulembeddemu okutikkiza abayizi bano, ku kitebe kya MUBS e Nakawa, Principle wa ssetendekero wa MUBS, Prof Moses Muhwezi, agambye nti ettendekero lyagala okubangula abayizi abasoba mu mitwalo 5 buli mwaka, kyokka nti bakaluubirizibwa olwobutaba na bifo bimala mwebayinza kubasomeseza.
Prof Muhwezi mu ngeri yeemu asabye government okukwasizaako abasomesa mu ssetendekero ono, okubalinnyisa amadaala kibayambeko okwongera okusakira ettendekero ku mitendera egyenjawulo.
Amyuka ssenkulu wa Makerere University, Prof Barnabas Nawangwe, agambye nti government esaanidde okwongera amanyi mu kuwagira amasomo g’ebyemikono, kiyambeko eggwanga okufuna abakugu mu bisaawe ebyenjawulo ebigasa eggwanga.
Bisakiddwa: Ddungu Davis