Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kikakasizza abatendesi 3 okuvuganya ku ngule y’omutendesi asinze okutendeka omupiira omwaka ogwayita 2024.
Abatendesi bano kuliko Brian Ssenyondo, eyawangulira Uganda Cubs ekikopo kya CECAFA U17 Championship, ate nga era yayambako club ya Kitara okuwangula ekikopo kya Uganda Cup.
Omutendesi omulala avuganya ku ngule eno ye Dusan Stajonovic, yawangulira Villa Jogo Ssalongo ekikopo kya liigi eky’omulundi ogwe 17, wabula nga waali wayise emyaka 20 nga ekikopo kino bakikonga lusu.
Omutendesi ow’okusatu ye Hussein Mbalangu, omutendesi wa club ya NEC, eyatekawo omutindo ogwenjawulo season ewedde.
Okutikkira abawanguzi engule kugenda kuberawo nga 30 May,2025 ku Serena Hotel mu Kampala.
Engule zino zibadde zaakoma okutegekebwa mu 2021.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe