Omulamuziwa Kooti esookerwako e Sembabule kyaddaaki ayimbudde kkansala w’ekibuga kye Ntuusi ku lukiiko lwa District awamu n’ebanna kibiina kya NRM babiri omulala n’emusindika ku alimanda ku misango egibadde gibavunaanibwa egy’okulumya omuntu n’okutataganya okulonda kw’abakulembeze ba NRM.
Oludda oluwabi lutegezeza kooti nti nga ennaku z’omwezi 15.05.2025 ku kifo ekyironderwako e Bwogera mu Ntuusi Town Council, kansala Gerald Ssenkusu Ssenyonga, Mike Ssentamu saako Luyiima Frank Nkunda ne Tumusiime William batuusa ku Mulindwa Ronald ebisago ebyamaanyi awamu n’okulemesa okulonda bonna emisango gyebeganye.
Omubaka Theodore Ssekikubo munnamateeka wa kkansala Gerald Ssenkusu Ssenyonga awamu ne Mike Ssentamu asabye Omulamuzi Roymond Gyagwe okukkiriza abantu be beyimirirwe, nti kuba emisango egibavunaanwa sigyannaggomola songa n’ekirala baakubwa emitwe n’ebagyasa nga ekkomera sikyekifo ekituufu mwebalina okubeera okuggyako eddwaliro.
Era wano munnamateeka Theodore Ssekikubo alaze kooti abeyimirize okubadde Peter Sserunjogi, Ssenkoto Francis, Ssekikubo George Ssenkomi awamu ne Paul Kiyemba.
Ate munnamateeka wa Luyiima Fred Nkunda nga ye Anifa Yakubo naye asabye kooti omuntu we yeyimirirwe era agiraze baleese okumweyimirira okubadde Kellen Natuleeba ne Robert Nasasira.
Bwato Omulamuzi Roymond Gyagwe abasatu bano abakkiriza okweyimirirwa nga kansala Gerals Ssenkusu ne Mike Ssentamu abalagidde okusasula ensimbi emitwalo abiri abiri ezabuliwo n’ababeyimiridde akakadde kamu kamu ezitali z’abuliwo.
Luyiima Frank Nkunda amulagidde okusasula ensimbi akakadde kalamba ez’abuliwo n’abamweyimiridde obukadde bubiri ezitali zabuliwo songa ye Tumisiime William asindikiddwa mukkomera e Sembabule okutuusa nga 16.06.2025 omusango guno lweguliddamu okuwulirwa.
Munnamateeka Theodore Ssekikubo agambye nti okukwata abantu be abatalina kyebaakola kigendereddwamu okubatulugunya awamu n’okubalemesa okulonda n’okwesimbaawo kubifo ebimu nga kikolebwa Police n’ebanne bwebavuganya.
Bisakiddwa: Jimmy Ssekabiito