Akakiiko ka parliament akalondoola enkozesa y’ensimbi y’omuwi w’omusolo kayise bunnambiro omukwanaganya w’enteekateeka ya Parish Development Model (PDM) Denis Ssozi Galabuzi ne baakola nabo balabikeko mu kakiiko kano okwewozaako ku nsonga z’obuwumbi 5.7 ezaabaweebwa naye nga kati tezimanyiddwako mayitire.
Omukulembeze w’eggwanga Gen Yoweri kaguta Museveni azze atalaaga eggwanga okwekeneenya enkola ya PDM obanga evuddemu ebibala bukyanga agitongoza mu February w’omwaka 2022.
Wabula wadde ekigendererwa kya government kwali kuggya bantu mu bwavu, ebitundu ebimu president gyatalaaze abamu ku balina okuganyulwa mu nteekateeka eno bazze boogera kaati nga bwetebagasizza olw’emivvuyo egigyetobeseemu.
Aba Ministry ya government ez’ebitundu abakulembeddwamu omuteesiteesi omukulu Ben Kumumanya, balabiseeko mu kakiiko ka parliament akalondoola ensimbi y’omuwi w’omusolo okwanukula ku bitaatambula bulungi okusinziira ku alipoota ya ssaababalirizi wa government ey’omwaka oguwedde 2024.
Basoose kulambulula ku nteekateeka ya PDM nga bwetambudde obulungi okwetoloola eggwanga lyonna .
Wano ssentebe w’akakiiko ka PAC muhamad Muwanga kivumbi bw’abasabye okulambulula ku buwumbi bwa shs 5.7 ezaaweebwa abakulu abaddukanya enteekateeka ya PDM okulondoola enkola eno nayenga ensaasanya y’ensimbi zino temanyiddwako mayitire.
Eby’okwanukula bibuze ku nsaasanya y’ensimbi ezoogerwako.
Alipoota ya ssaababalirizi wa government eraga nti wadde abakulu baalambulula nti ezimu kunsimbi zino baaziteeka mu kutegeka enkuηaana 20 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo, ensaasanya ya nkuηaana 4 zokka yeeragibwa.
Kumumanya ategeezezza ababaka nti ensisinkano ezimu zaaliwo nayenga zaayindira ku mutimbagano gwa Zoom , ekyongedde okutabula embeera mu kakiiko.
Ababaka bagamba nti singa abakulira PDM baali bakola bulungi ogwabaweebwa, n’okutalaaga kw’omukulembeze w’eggwanga mwasasanyiZza obutitimbe ng’alondoola PDM oba olyawo kwandibadDe tekuliiwo.
Ssentebe w’akakiiko wasinzidde naayita omukwanaganya ‘w’enteekateeka ya Parish Development Model Denis Ssozi Galabuzi ne baakola nabo, balabikeko mu kakiiko kano okwewozaako ku nsonga z’obuwumbi 5.7 ezaabaweebwa naye nga kati tezimanyiddwako mayitire.