Ababaka ba parliament eye 11 abawera 7 basaze eddiiro nebesogga NUP, mu kwetegekera akaddako aka 2026.
Ababaka abesozze NUP bavudde mu bibiinq ebirala ebiri ku ludda oluvuganya, ate abalala tebabadde nabibiina.
Baaniriziddwa president wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ku kitebe ky’ekibiina e Makerere Kavule, n’abambaza obukoofiira n’okubakwasa kkaadi z’ekibiina.
Waliwo n’abantu ba bulijjo abalala abalangiridde nti begasse k NUP.