Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga atuuse mu Kibuga Boston mu America gyagenda okwetaba mu lukuηaana olutaba abantu ba Kabaka olwa Buganda Bumu North American Convention 2025.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ali n’Omumyukawe owookubiri Owek Robert Waggwa Nsibirwa, Owek Hajji Mutaasa Kafeero, n’abalala.
Nga bakatuuka ku kisaawe kya Logan International Airport, baaniriziddwa Owek Joseph Kawuki minister wa government ezebitundu n’Okulambula kwa Kabaka,Omwami wa Kabaka Owessaza New England, Oweek. Henry Matovu Ndawula,Oweek. Kato Kajubi omubaka wa kabaka eyawummula, Omumyuka wa Ssentebe wa Ggwangamujje Boston Ronah Nakalyowa,Fred Katende Ssentebe wa Boston Ggwangamujje eyawummula era omuwanika wa Kabaka foundation, n’abantu abalala.
Okusinziira ku Owek. Joseph Kawuki, Katikkiro asuubirwa okusisinkana abakulembeze ba ggwangamujje Boston okubaako ensonga zebakubaganyaako ebirowoozo, nga olukungaana terunnatandika mu butongole.
Abakulembeze b’abantu ba Kabaka mu Ssaza New England bwebazizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okusiima naabawa obuvunaanyizibwa okulondoola embeera z’Abantube mu America ne Canada.
Omwami wa Kabaka akulembera essaza lya New England Owek Henry Matovu agambye nti Abantu b’Omuteregga bazze bateeka mu nkola Obubaka Ssaabasajja bwabakuutira, ekibawadde amaanyi okukyuusa embeera zaabwe.
Bisakiddwa: Kato Denis