Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kitongozza ekikopo ekipya ekigenda okuwakanirwanga club za liigi ya babinywera eya Uganda Premier League.
Ekikopo kino kituumiddwa FUFA Uganda Premier League Trophy, nga kwotadde n’erinnya epatiike erya Margherita.
Margherita y’entikko y’olusozi Rwenzori, olusozi olusinga obuwanvu mu Uganda, nga n’olwekyo FUFA esazeewo ekikopo kino okukituuma erinnya lino olw’okuba nti Uganda Premier League era ye liigi y’okuntiko ey’omuzannyo gw’eomupiira mu Uganda.

Margherita egenda kusooka kukwasibwa club ya Vipers eyawangudde Uganda Premier League season eno 2024/25, era ekikopo kino kigenda kugikwasibwa ku Saturday nga 24 May,2025 mu kisaawe e Kitende.
FUFA ekinogaanyizza nti ekikopo kino kikoleddwa olw’okuba nti ekiseera kyonna abantu babadde basaba ekikopo kino okukyusibwa kituukane n’omutindo.
Ekikopo kiri mu langi ya Feeza.
Bisakiddwa: Kato Denis