Abayizi abatuula ebigezo bya s.6 bongedde okusalika, ng’omwaka oguwedde 2022 gwebaasinze okubeera abatono, mu bbanga ery’emyaka 5 egiyise.
Omwaka oguyise 2022 baatuula 97,890, mu 2021 baatuula 98,392, ate mu 2019 baatuula 104,476, mu 2018 baali 989,576, so nga 2017 baali 101,269.
Omwaka oguyise 2022 abayizi abayise ebigezo okutwalira awamu abawala bakoze bulungiko okusinga ku balenzi.
Mu bigezo ebikomezeddwawo ebya 2022 abayizi abafunye principal pass e 3 baweza ebitundu 48.6% ate abalenzi bakola ebitundu 40.1%.
Abalina principal pass 2 abawala bali ebitundu 75.1%, sso ng’abalenzi bali ebitundu 67%.
Abayizi abasinga obungi baalemereddwa okutegeera n’okutaputa ebibuuzo ekyabaviiriddeko abamu okugwa n’okukola obubi, n’abamu balemereddwa okukungaanya obubonero obwessalira mu mpapula zonna (Paper Balance).
Abayizi emitwalo 97,889 bebaatula ebigezo omwaka oguwedde 2022, ng’omuwendo gweyongeddeko okuva ku bayizi emitwalo 98,392 abaatula 2021.
Ku bayizi abaatula ebibuuzo mu 2022 ebitundu 42% bawala ssonga ebitundu 52% balenzi nga baatulira mu centers 1,969.
Dan Odongo ssabawandiisi wa UNEB agambye nti abayizi abawala bakoze bulungiko ku balenzi ku mutendera guno mu masomo okuli Physics, Okubala, ne mumasomo ga Arts agasinga sso ng’abalenzi bakizeeko abawala mu masomo ga Chemistry, Art, Biology ne General Paper.
Dan Odongo ssabawandiisi wa UNEB yennyamidde nti n’okutuuka ku mutendera guno, wakyaliwo abayizi abatasobola kuddamu bibuuzo bibaweereddwa nebawandiika ebyo byebagadde ku mpapula.
”Dear Mr.examiner, you are still wasting time on me when there are more serious candidates? I’am the stone that the builder refused.”
Prof Mary Okwakol ssentebe w’ekitongole kya UNEB, agambye nti abayizi abawala abajjumbira okukola amasomo ga science bakyali batono bw’ogerageranya n’abalenzi, era nga wadde ministry yabalagira okunoonyereza ku kireetera embeera eno tebanakikola olw’obufunda b’wnesawo yabwe mu by’ensimbi.
Bisakiddwa: Ddungu Davis