Akakiiko ke ddembe lyóbuntu aka Uganda Human Rights Commission kagala ssabawolereza wa government addukire mu kooti ensukkulumu, ajulire ku nsala ya kooti etaputa ssemateeka olwókusazaamu ennyingo eya 25 ey’etteeka erikwata ku nkozesa ya computer.
Abalamuzi baayimirizza ennyingo eyo nti ebadde egyako abantu eddembe lyabwe ery’okweyogerera, nga bwerirambikiddwa mu ssemateeka w’eggwanga.
Abalamuzi 5 aba kooti etaputa ssemateeka nga bakulembeddwamu amyuka ssaabalamuzi Richard Buteera, baasazizaamu ennyingo eye 25 mu tteeka erirwanyisa enkozesa embi eyomutimbagano, erya Computer Mis use ACT 2011.
Bakaanyizza bukuyege nti ennyingo eyo egibwewo nti kubanga egyako abantu eddembe lyabwe ery’okweyogerera.
Ssentebe wákakiiko k’eddembe lyóbuntu Mariam Wangadya,agambye nti wadde ng’enyingo eno yagobeddwa, nti naye abantu bandikozesa omukisa guno ate okwongera okuweebuula abalala nga bakozesa computer n’emikutu emigatta bantu.
Asabye ssaabawolereza wa government abayambe addukire mu kooti ensukulumu, eddemu yekennenye ensala yábalamuzi bano.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif