Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’ensero eyabakazi eya The Gazelles, mu butongole etandise okutendekebwa okwetegekera empaka za Africa eza FIBA Women Afro Basket Championship ez’omwaka guno 2025.
Empaka zino zigenda kubeerawo okuva nga 26 omwezi guno ogwa July, okutuuka nga 3 August mu kibuga Abidjan ekya Ivory Coast.
Uganda Gazelles etendekebwa ku Africa Bible University e Lubowa wansi wabatendesi Nicholas Natuhereza, n’omumyukawe Ben Komakech.
Wabula mu kutendekebwa okusoose abazannyi 06 be bakwetabyemu wadde abazannyi 13 omugatte be bayitiddwa okwetegekera empaka zino.
Abazannyi abayitiddwa kuliko captain Jane Asinde, Jamirah Nansikombi, Hope Akello, Shakirah Nanvubya, Tracy Namugosa, Perus Nyamwenge, Paige Robinson, Claire Lamunu nabalala.
Uganda Gazelles yetegekera mpaka za Africa – FIBA Women’s Afro Basket Championships 2025, eri mu kibinja C ne Senegal ewamu ne Guinea.
Uganda Gazelles egenda kukiika mu mpaka ezakamalirizo omulundi ogw’okuna, nga yasooka kukiika mu 1997, 2015 ne 2023, nga kakaano egenda kuvuganya mu mpaka za 2025.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe