Ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’ensero eyabakazi eya The Gazelles, etandise bulungi ddala mu mpaka za FIBA Women’s Afro Basket Zone V Qualifiers ezitandise mu kibuga Cairo ekya Misiri.
Uganda Gazelles ekubye bamulirwana aba Kenya obugoba 78 ku 56.
Omuzannyi Jane Asinde owa Uganda Gazelles yalondedwa nga omuzannyi asinze mu muzannyo guno.
Uganda Gazelles egenda kukomawo mu kisaawe enkya ku Tuesday nga 04 February,2025 okuzannya ne Misiri,ate ku lWednesday ejja kuzannya ne South Sudan ate ku Thursday ettunke ne Burundi.
Uganda erwana okukiika mu mpaka ezakamalirizo eza FIFA Women’s Afro Basket Championships ezinabeera mu kibuga Abidjan ekya IvoryCoast era omwaka guno 2025.
Uganda yakakiika mu mpaka ezakamalirizo emirundi 3, nga yasooka mu 1997, 2015 ne 2023, nga kati erwana kukiika mulundi gwakuna.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe