Omubaka omukyala owa district ye Wakiso Betty Ethel Naluyima agamba nti wakwanja ekiteeso ekisaba parliament eyise enkola ey’okulambika enkuza y’abaana abalenzi, nti ssinga tewabeerawo kikolebwa eggwanga lyolekedde okufuna omulembe gw’abaami abatalimu nsa , nga kino kiva kukulagajjalira omwana owobulenzi.
Omubaka Betty Ethel Naluyima ng’atuula ku kakiiko kano asinziridde ku ssomero lya Naalya SS mu district ye Wakiso bwabadde atalaaga amassomero munkola gyeyatandikawo eya NAFFE TUSOME, nategeeza nga wakyaliwo omuwatwa munene mu nkuza y’abaana abalenzi n’abawala, so nga bandibadde bateekebwateekebwa wamu okusitula obusobozi bwa buli omu.
Nalongo Angella Kasobya omukulu w’essomero agamba nti ssinga abazadde tebasitukiramu mukulambika abaana ku nkozesa z’emikutu emigatta bantu, eggwanga lyolekedde akaseera akazibu olwabaana abatandise okubeera bakyetwala, nga bakoppa buli kyebasanze.
Bisakiddwa: Ngabo Tonny