Parliament eyisizza ennongosereza mu mateeka agafuga emisolo okuli ogwa excise duty ne income tax, omukulembeze w’eggwanga geyali agaanyi okusaako omukono nagazaayo mu parliament gaddemu okwetegerezebwa.
Amateeka gano gaali gaayisibwa parliament eye 11.
Mu tteeka lya Income Tax, Parliament yali ettadde omusolo gwa withholding tax ku nsimbi eziwangulibwa okuva mu okuzannya zaala, wabula yali erese ebbali zaala owa Casino, omukulembeze omukulembeze w’eggwanga kyeyagamba nti kyali kyabulabe era kyakusosola.
Mu tteeka lya excise duty, parliament yali eyongezza omusolo ku buveera okuva ku bitundu 2.5% ku buli ttaani y’obuveera, okutuuka ku bitundu 25% oba ddoola za America 1,500 ku buli ttaani y’obuveera.
Parliament bweyali eyisa omusolo guno yategeeza nti yali egendereddemu okukendeeza enkozesa y’obuveera olw’okwonoona obutonde bwensi.
Wabula omukulembeze w’eggwanga yagaana okwongeza omusolo guno, naagamba nti okwongeza omusolo ku buveera kiggya kukosa kampuni ezibukola mu kiseera kino, kubanga eggwanga terinafuna bikozesebwa bimala okuddira obuveera mu bigere.
Museveni yasaba omusolo gulekebwe ku bitundu 2.5% ku buli taani y’obuveera.
Parliament gizeemu negiyisibwa ng’okulungamya kw’omukulembeze w’eggwanga bwekwaali.
Casino ziteereddwako omusolo nazo ku nsimbi eziwangulibwa nga bwekiri ku zaala omulala, songa n’omusolo ku buveera gukendeezeddwa okudda ku bitundu 2.5% ku buli ttaani okuva ku bitundu 25% buli ttaani yobuveera gyegwaali guteereddwa.
Ebiyisidddwa parliament, byakusindiikibwa eri omukulembeze weggwanga okubisaako omukono olwo bitandiike okussibwa mu nkola.#








