Omuwuwuttanyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Allan Ayirworth, yegasse ku club ya Dunfermline Athletic eya Scotland, ng’agenzeeyo ku bwazike okuva mu club ya New England Revolution eya America.
Allan Ayirworth agenda kubeera ku bwazike mu Scotland okutuuka nga 31 omwezi ogw’okutaano omwaka ogujja 2027, wabula mu ndagaano eno muteredwamu akawaayiro okumugulira ddala singa binaaba bitambudde bulungi.
Mu season eno azannyidde club ya New England Revolution II emipiira 15 naateeberamu goolo 1 yokka, ate nga ttiimu enkulu eya New England Revolution egizanyidde emipiira 3 gyokka.
Ayirworth yakazannyira ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes emipiira 3 gyokka, wabula yawangula n’omudaali gwa feeza ne ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cubs mu mizannyo gya African Games mu 2023.
Allan Ayirworth ettuttumu yalifunira mu mpaka za Masaza ga Buganda, nga yazannyirako ttiimu y’essaza Mawokota ne Gomba, era yayambako Gomba okutuuka ku final y’empaka za Masaza mu 2023 wabula Bulemeezi n’egitwalako ekikopo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe








