Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abazannyi abatasussa myaka 17 eya Uganda Cubs, esitukidde mu kikopo ky’empaka za Africa Cup of Nations U17 CECAFA Zonal Qualifiers ezibadde ziyindira mu Uganda.
Uganda Cubs okutuuka ku buwanguzi buno emezze Tanzania ku goolo 2-1 mu nsitaano ebadde mu kisaawe e Nakivubo.
Tanzania yesoose okuteeba nga eyita mu muzannyi Abel Josiah Samson mu dakiika eye 11, wabula Uganda Cubs evuddeko mabega okuwangula ekikopo kino nga eyita mu bazannyi Arafat Nkoola mu ddakiika eye 63 ne James Bogere mu dakiika eye 88.
Omuzannyi wa Uganda Cubs Abubakali Walusimbi yalondedwa nga omuzannyi asinze banne okucanga endiba.
Tanzania ye ttiimu esinziza empisa.
Abraham Nassoro owa Tanzania ye mukwasi wa goolo asinze.
James Bogere owa Uganda Cubs yasinze okuteeba goolo ennyingi zibadde 7.
Somalia ye ttiimu ekutte ekifo eky’okusatu bw’ekubye South Sudan goolo 4-2 eza peneti oluvanyuma lw’okulemagana goolo 2-2 mu ddakiika ezessalira.
Uganda ne Tanzania ze ttiimu ebbiri ezigenda okukiikirira ekitundu kino ekya CECAFA mu mpaka ezakamalirizo eza Africa Cup of Nations U17 ezinaaberawo omwaka ogujja 2025 e Morocco.
Ttiimu ya Uganda Cubs okuwangula empaka zino ebadde etendekebwa Brain Ssenyondo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe