Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, ewangudde Burundi omulundi ogw’okubiri ogw’okuddinganwa, egikubye goolo 1-0 mu kisaawe e Nakivubo.
Zibadde mpaka ez’okusunsulamu amawanga ezinaakiika mu African Nations Championships CHAN ezinaberawo omwaka ogujja 2025.
Uganda ebadde yayitawo dda olw’okuba y’egenda okutegeka empaka za CHAN ng’eri wamu ne Kenya ne Tanzania.
Goolo ewadde Uganda Cranes obuwanguzi eteebeddwa Hakim Kiwanuka mu dakiika eye 90.
Omupiira guno gubadde gwakuddingana, ng’oluzannya olwasooka era mu kisaawe kye kimu, Uganda yawangula goolo 1-0.
Empaka za CHAN zigenda kubeerawo okuva nga 01 okutuuka nga 28, February mu Uganda, Kenya ne Tanzania.
Empaka zino zetabwamu abazannyi bokka abazannyira mu mawanga gabwe, era Senegal be bannantamegwa b’empaka ezasembayo.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe