Ab’eddwaliro erijanjaba obulwadde bwa Kookolo mu ggwanga erya Uganda Cancer Institute e Mulago balangiridde nti batandise okuwa empereeza z’obujanjabi ez’okukyusa omusaayi gw’abantu abalina obulwadde obwekuusa ku butaffaali bw’omubiri ne musaayi naddala obulwadde bwa Nalubiri.
Obujanjabi buno bukozesa enkola mu luzungu eyitibwa apheresis and cellular therapy.
Dr Henry Ddungu eyebuzibwako ku ndwadde z’omusaayi ku Uganda Cancer Institute agambye, nti kati balina obusoboozi obw’okukyusa omusaayi gw’omuntu alina obulwadde bwa Nalubiri oba Sickle cell natekebwamu omusaayi omulala ogusobola okumuyambako okuwangaala ebbanga ate n’okukendeeza ku bulumi.
Agambye nti bakolagana n’ekitongole ekikunganya omusaayi ekya Uganda Blood Transfusion Services, okulondobamu omusaayi ogulina ebirungo byebabeera bagala.
Dr. Henry Ddungu era ategezeza nti bali mu ntekateeka ez’Okutandiika okusimbuliiza obusomyo okuva mu mibiri gy’abantu ekiyitibwa Borne Marrow transplant ku ddwaliro lya Uganda Cancer Institute, era nfa bamaze okutegeka abakugu n’ebintu ebikozesebwa mu nkola eno.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico