Ng’ekibiina kya Democratic Party, kiteekateeka ttabamiruka waakyo nga 30 May, 2025, ekibiina mwekigenda okulondera abakulembeze abaggya, abamu ku banna DP abatakkiriziganya n’obukulembeze bwa Nobert Mao bawakanyizza enteekateeka zonna ezikolebwa.
Bagamba nti ekibiina tekisobola kutuuza lukiiko lwonna ng’emisango egyaloopwa mu kkooti tejinagonjoolwa.
Kkooti enkulu ng’ekulirwa Omulamuzi Douglas Singizza yalangirira nti nga 13 omwezi gwa May, 2025, lwegenda okuwa ensala yaayo mu musango oguvunaana Mao n’obukulembeze bwa DP olw’okweremeza mu wofiisi.
Kkooti enkulu eye Gulu ng’ekulemberwa omulamuzi Phillip Odoch yeyasooka okujungulula okulondebwa kwa Nobert Mao n’olukiiko lwe.
Wiiki ewedde Norbert Mao yalangiridde nti DP yakutegeka ttabimiruka waayo nga 30th May,2025 era naasaba ba memba abaagala obukulembeze okweteekateka obulungi.
Wabula abamu ku banna DP abawakanya obukulembeze bwa Mao, abakulemberwamu Kiwanuka Bendicto Galiko, bagamba nti kikyamu Mao naabakulembeze beekibiina okulangirira olunaku luno nga tebasoose ku manya ekinaava mu kkooti.
Kiwanuka agamba nti kooti yerina okulambika newassibwawo akakiiko akalina okutegeka Ttabamiruka n’okulonda, sso ssi bakulembeze abataliiwo mu mateeka ate okutegeka okulonda.
Bendicto Kiwanuka Galiko, era alabudde ekibiina kya DP nti siinga kigenda mu maaso n’okutuuza olukiiko luno awatali kugondera misango egikyali mu mbuga z’amateeka, abakulembeze bonna abasuubira okukwatira ekibiina bendera beerinde okuwangulwa nga bwebaawanguddwa mu kalulu ka Kawempe North akaakaggwa.
Enkaayana mu kibiina kya DP zaava ku president w’ekibiina kino Norbert Mao okukola endagaano n’ekibiina kya NRM bwatyo nebamugonnomolako nekifo kyobwa minister w’ensonga za ssemateeka ekyatabula banna DP.
Gyebuvuddeko bannakibiina kya DP baatuuzizza olutuula olw’enjawulo mu kibuga Soroti, nga bakulembeddwamu Denis Mukasa Mbidde nebasaba president w’ekibiina Nobert Mao asattulule enkolagana gyeyatwalamu ekibiina kyabwe mu NRM.#