Ssentebe wa district ye Kamuli Charles Mugude Maxwell Kuwembula afiiridde mu kabenje akagudde e Nakifuma, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Kayunga.
Kigambibwa nti Kuwembula abadde agenda ku kitebe ky’ekibiina kye ekya NRM ku Kyadondo Road mu Kampala, okuggyayo empapula zokuddamu okuvuganya mu kamyufu k’ekibiina.
Ssentebe Kuwembula abadde avuga mmotoka kika kya Toyota Hillux Double Cabin No.UG699M, kigambibwa nti atomedde emmotoka endala ebadde esiimbiddwa ku kkubo No.UBR 835k.
Omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti ddereeva wa mmotoka endala ebadde esiimbye ku kkubo talabikako batandise okumunoonya.#