Ssenkulu wa CBS Omuk. Michael Kawooya Mwebe akyazizza abamu ku bakungu ba KCCA ab’oluuyi olw’ekikugu, nga bakulembeddwamu ssenkulu wa KCCA omuggya Hajjati Sharifa Buzeki mu kaweefube w’okuzza obuggya enkolagana w’ebitongole byebakulira.
Omuk. Kawooya Mwebe agambye nti enkolagana n’abakulira ekibuga Kampala simpya kale nga noono omuggya baakukolagana naye bulungi mu kaweefube w’okukuuma ekibuga nga kiyonjo, nga bagoberera enteekateeka nga bwezanjulwa.