Ssabalabirizi we ekkanisa ya Uganda, Dr. Samuel Kazimba Mugalu alabudde ku bikolwa ebyekitta bantu ebikyakyaaka mu ggwanga ensangi zino, kyagambye nti bino byebimu ku byaleetera ekkanisa okufiirwa abamu kubakulembeze abembavu ng’omugenzi Bishop Hannington James eyattibwa mu Busoga.
The Most Rev. Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, bwabadde ayogerako ne bannamawulire mumakaage e Namirembe, nga ayanjula enteekateeka y’okukuza olunaku lwo ku kuttibwa kwa Bishop Hannington James, agambye nti omulabirizi ono, yattibwa olwobuwereza bweyali akola nokuwayirizibwa, ssonga nensangi zino ebikolwa nga bino bikyeyoleka mu bantu.
Ssabalabirizi Kazimba Mugalu, agambye nti olunaku lwokujjukira Bishop Hannington lwakukwatibwa enkya nga 29 omwezi guno, era obulabirizi bwe Busoga bwebugenda okukulemberamu enteekateeka zino munkola eya Science.
Ssabalabirizi Kazimba agambye nti ebikolwa byokutta abantu birina okukomezebwa naddala mukiseera kino ng’eggwanga liri mjkwetegekeea akalulu ka 2021.
Bishop Hannington yattibwa mu mwaka gwa 1885 mu bitundu bye Busoga Ku kyalo kye Kyando, era ngemikolo ejigenda okwetabwako abantu abatonotono gyejigenda okukwatibwa enkya.