Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yebazizza Radio ya Buganda CBS, olw’obuweereza obuzzaamu abantu essuubi, nga kati ewezezza emyaka 30 mu buweereza.
CBS yagenda ku mayengo g’ebyempuliziganya nga 22 June,1996, era ng’okuva olwo etandiseewo obuweereza obwenjawulo obuyita ku mpewo ku mikutu 88.8 ne 89.2, saako obuweereza obulala obw’ebyenkulaakulana.
Abadde aggulawo omwooleso gwa CBS PEWOSA 2026 ogubumbujjira mu Lubiri e Mengo.
Katikkiro akinogaanyizza nti CBS ezze ewa abantu ba Kabaka amawulire amatuufu emyaka gyonna ekibakuumidde ennyo waggulu n’abantu nebaggyisaamu obwesige.
Katikkiro agambye nti CBS ekoze kinene Okuyunga abantu ba Kabaka ku lujegere lw’enkulaakulana ng’ebasomesa Obwegassi, n’okusitula Ebitone by’Abavubuka nebagaggawala.
Minister w’Ebyobulimi Obulunzi n’Obwegassi Owek Hajji Amiisi Kakomo agambye nti CBS enyweezezza nnyo enkolagana n’Obwakabaka bwa Buganda, ekiyambye entekateeka zaayo zonna okugguka.

Ssentebe w’Olukiiko oluddukanya Radio ya Kabaka CBS Omuk David Baalaaka, ayogedde ku bituukiddwako mu myaka 30 nga CBS eweereza ensi eno, neyeebaza Ssaabasajja olw’okulowooza ennyo ku Bantu be ,omuli abavubuka n’abakadde.
Mulimu amawulire ne ppulogulaamu ezikwata ku bintu ebyenjawulo, Nsindikanjake esomesezza abalimi n’abalunzi, Entanda ya Buganda eyigirizza abantu olulimi oluganda n’ebyobuwangwa ebirala, Ebyemizannyo okuyita mu Bbingwa.

Ebirala ebikolebwa CBS y’enteekateeka ya PEWOSA abantu mwebayita okutereka ensimbi n’okwewola, okutumbula ebyenjigiriza okuyita mukuyambako abazira mu bazira nebatandikawo amasomero, n’omwoleso gwa CBS PEWOSA oguyambye abantu okuyiga ebintu ebyenjawulo, awamu n’abalina amakolero amatono n’amanene okwolesa ebintu byabwe nebimanyika.
Abantu bangi bajjumbidde okuyingira omwoleso okulaba n’okusomesebwa ku bintu ebyenjawulo ebyoleseddwa mu mwoleso guno, omuli ebikwata ku by’Obulimi, Obulunzi, Obwegassi, ebyenjigiriza nekalonda omulala.
Okuyingira omwoleso kwa shs 5000/=, gwatandika nga 08 June, gukomekkerezebwa ku Sunday nga 14 June,2026.#












