Obwakabaka bwa Buganda bwanjudde olukiiko olugenda okukulemberamu enteekateeka z’okujaguza Amatikkira ga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agomulundi ogwa 33.
Olukiiko lukulemberwa Owek. Joseph Kawuki, Amyukibwa Owek. Ssaalongo Robert Serwanga, bamemba ku Lukiiko ye Owek. Noah Kiyimba, Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek. Ahmed Magandaazi Matovu owe Ssazza Kyadondo , Omuk. Josephine Nantege, Omuk. David Ntege ne Capt. Christopher Lutwama.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yayanjudde olukiiko luno ku Bulange e Mengo, nategeeza nti, Omwaka guno 2026 Omuteregga yasiimye emikolo gibeera ku Kkanisa ya Watoto nga 31 Kasambula , ku mulamwa ogugamba nti “Tubeere Bavumu mu Kukuuma Obuwangwa bwaffe”.
Ow’omumbuga agamba nti bingi ebituukiddwako mu myaka 33 nga Nnyinimu Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi II alamula Obuganda, omuli eby’obulamu , eby’enjigiriza nekulakulana endala .
Mukuuma Ddamula nga yesigama ku Mulamwa gw’Omwaka guno, asabye Abantu ba Buganda okubeera abavumu n’obutekiriranya ku nsonga z’Embuga.
Ssentebe w’olukiiko olulondeddwa era Minisita wa gavumenti ez’ebitundu era avunaanyizibwa ku bantu b’Omutanda ebweru wa Buaganda, Owekitiibwa Joseph Kawuki Balikuddembe yeyamye nti bakukolagana n’ abantu bonna okuteekateeka emikolo egy’ekitiibwa.
Empologoma ya Buganda Ronald Muwenda Mutebi II yatikkirwa nga 31 Kasambula,1993 e Naggalabi Buddo.#
Bisakiddwa: Ssebuliba Julius











