Obwakabaka bwa Buganda nga bukolaganira wamu n’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, bakakasizza baddifiri abagenda okulamula omupiira oguggulawo empaka z’Amasaza ga Buganda wa Buweekula ne Kyadondo.
Omupiira guno gugenda kuzannyibwa ku Saturday nga 13 June,2026 ku ssaawa 10 ez’olweggulo mu kisaawe kya Mubende NTC.
Joseph Masembe yalondedwa okulamula omupiira guno,agenda kuyambibwako abawuubi b’ekitambala okuli Azizi Mugalu ne Julius Mukasa, ate nga ddifiri ow’okuna ye Jjumba Solomon.
Buweekula ejja mu mupiira guno nga be bannantameggwa b’empaka ezasembayo eza 2025, ate Kyadondo empaka zino yaziwangula mu 2008.
Okuyingira mu kisaawe okulaba omupiira guno osasula kwa shs 15,000/= ne 50,000/-.
Ssentebe w’olukiiko oluteekateeka amasaza Hajji Ssejjengo Sulaiman agambye nti Amasaza amalala gatandika okuzannya nga 20 ne 21 omwezi guno ogwa June,2026.
Empaka zino za mulundi gwa 22 nga zizannyibwa okuva lwezaddamu mu mwaka 2004.
Amasaza gonna gasengekeddwa mu bibinja 3.
Ekibinja Bulange mulimu; Buweekula, Kyadondo, Buluuli, Busujju, Buddu ne Buvuma.
Ekibinja Muganzirwazza mulimu; Ssingo, Bugerere, Kabula, Butambala, Mawogola ne Kkooki.
Ekibinja Masengere mulimu Kyaggwe, Mawokota, Ssese, Gomba, Bulemeezi ne Busiro.
Gomba ye kyasinze okuwangula empaka zino emirundi giri 5.
Buddu, Bulemeezi ne Mawokota gakakiwangula emirundi 3 buli omu.
Ssingo emirundi 2, olwo Kkooki, Kyadondo, Buluuli ne Busiro omulundi gumu gumu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












