Obwakabaka bwa Buganda butongozza empaka z’Amasaza ga Buganda ez’omupiira ogw’ebigere ez’omwaka guno 2026, n’omulanga eri bonna abakwatibwako empaka zino okunnyikiza enteekateeka za Ssabasajja Kabaka ezatandisawo empaka zino.
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yaatongozza empaka zino ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mengo.
Akinogaanyizza nti Ssabasajja yatandikawo empaka zino n’emiramwa egyenjawulo omuli n’okusosowaza obumu.
Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti empaka zino kkubo ddene ddala ery’okusitula ebitone bya bavubuka ate n’emirimu eri bonna abakwatibwako.
Empaka z’Amasaza zigenda kutandika ku lw’omukaaga luno nga 13 June,2026 e Buweekula, nga Buweekula ettunka ne Kyadondo mu kisaawe kya Mubende NTC.
Minister w’abavubka eby’emizannyo n’ebitone Owek Ssalongo Robert Sserwanga, akakasizza Obuganda nti enteekateeka zonna ziwedde empaka zino okuzannyibwa obulungi ddala.
Omwami wa Kabaka atwala essaza Bulemeezi, Kangawo Omulangira Ronald Mulondo, agambye nti ng’abaami bagenda kukola butassa mukka butassa mwoyo okutambuza empaka zino, era asabye bonna abakwatibwako okusoosowaza obwerufu.
Ssenetebe w’empaka za Masaza Hajji Sulaiman Ssejjengo akakasiza nti ku mulundi guno omutindo gugenda kubeera gwawaggulu ddala.
Ku bavugirizi b’empaka zino abakulembedwamu abavugirizi abakulu aba Airtel Uganda, Soumendra Sahu ssenkulu wa Airtel, akakasiza nti ssibakussa mukono mu kuwagira empaka zino mu busobozi bwabwe bonna.
Abavugirizi abalala ye Centenary bank abawaddeyo obukadde bwa shs 200, CBS, BBS, UNAIDS, Plascon nabalala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe












