• Latest
  • Trending
  • All
Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

June 11, 2026
Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi

Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi

August 18, 2026
Court  orders New Park Lockup Owners Association to compensate 2 traders billions of shillings 

Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150

August 17, 2026

NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi

August 17, 2026

Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026

August 16, 2026
Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

August 15, 2026
Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu  1954 – 2026

Kitalo ! Munnabitone Alex Mukulu 1954 – 2026

August 15, 2026
Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

Waliwo nnamateeka abagala parliament erangirire mu lwatu – nti ba minister abaalina obutuuze bw’amawanga amalala bwasaziddwamu

August 14, 2026
Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa  ku kkomera e Kyegegwa

Emmundu 2 zezibbiddwa mu bulumbaganyi obukoleddwa ku kkomera e Kyegegwa

August 14, 2026
Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

Police ekutte ddereeva eyavaako akabenje omwafiira bannamwulire ba Next Media

August 14, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

August 13, 2026
Ministry y’ebyobulamu ewolerezza amalwaliro ga government agasaba abalwadde ensimbi

Omuyimbi Vinka ekiise embuga naayanjulira Katikkiro Mayiga ekivvulu kye – ekiriwo nga 21 August,2026 ku Cricket Oval

August 13, 2026
Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

Kooti esalidde Luggya Bbosa Tabula ne Luggya Noah ekibonerezo kyakuttibwa ku kalabba – olw’okutemula Eng.Daniel Bbosa eyali Omukulu w’ekika ky’Endiga

August 13, 2026
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
CBS FM
89.2 FM Emmanduso
Live
88.8 FM Eyobujjajja
Live
Advertisement
  • Home
  • News
    • News
    • World News
    • Health
    • CBS FM
    • Amawulire
    • Business
    • Sports
    • Opinions
    • Features
    • Entertainment
  • ABOUT US
  • ON-AIR PROGRAMS
    • CBS FM 88.8
    • CBS FM 89.2
  • DEPARTMENTS
    • BOARD OF DIRECTORS
    • MANAGEMENT
  • BUGANDA
  • CBS PARTNERS
    • Nsindikanjake Holdings Limited
    • CBS-PEWOSA NGO
    • Cbs Fans Club
    • Entanda ya Buganda magazine
    • Eyeterekera Sacco
    • Kyadondo Sacco
    • Busiro Sacco
    • Buddu Sacco
    • Stromme Foundation
    • Ebitongole byóbwakabaka
  • EVENTS
    • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Archive
  • CONTACTS
No Result
View All Result
89.2 FM
89.2 FM
88.8 FM Eyobujjajja
88.8 FM
Home Opinions

Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga

by Namubiru Juliet
June 11, 2026
in Opinions
0 0
0
Embalirira ya Uganda esomeddwa ey’omwaka 2026/2027-essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo gw’ebibuga
0
SHARES
66
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter
Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga Henry Musaasizi ayanjulidde eggwanga embalirira government kwegenda okutambuliza emirimu mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja 2026/2027 ya trillion 84 n’obuwumbi 391, essira lissiddwa kukusitula eggwanga lyonna okutambulira ku mutindo ogw’enkulaakulana y’ebibuga (Urbanisation)
Embalirira eno agisomedde mu kisaawe e Kololo parliament gyetuuziza olutuula lwayo olwaleero nga 11 June,2026, yetabiddwako n’omukulembeze w’eggwanga.
president Yoweri Kaguta Museveni mu kusoma embalirira y’eggwanga eya 2026/2027
Mu mbalirira eno, governmetnt eteeseteese okukuηηaanya omusolo oguweza ensimbi trillion 45 n’obuwumbi 960.
Trillion 1 n’obuwumbi 442 zigenda kuva mu nsawo government mwetereka eziva mu mafuta g’eggwanga, sog nga trillion ezisoba mu 35, government egenda kuzeewola okuva  munda mu Uganda n’ebweru w’eggwanga okuyimirizaawo embalirira eno eya trillion 84 n’obuwumbi 391.
Ku trillion 84 n’obuwumbi 391 , trillion 9 n’obuwumbi 709 egenda kuzikozesa okusasula emisaala gy’abaakozi n’ensako yaabwe.
Trillion 33 n’obuwumbi 262 bugenda kukozesebwa okuddukanya eggwanga okuli okuzimba enguudo, amasomero, amalwaliro, n’ebirala.
Trillion ezisoba mu 33, zigenda kusaasaanyizibwa okusasula amabanja n’abagoba ku mabanja government gezze yewola.
Obuwumbi 547 government egenda kuzisasula bank enkulu ey’eggwanga
Minister  Henry Musaasizi agambye nti government etaddewo ensimbi eri abayiiya, bannabitone, bannamakolero, bamufuna mpola, abasuubuzi, abalimi, abalunzi nabalala, okusitula embeera ya bannauganda, kwekusaba bannauganda bakozese embalirira eno okukyusa obulamu.
Minister era alangiridde nti nga omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bweyalangirira nti ekisanja kino tewali kwebaka, tewali bulyi bwanguzi  era government etaddewo enteekateeka ez’omuzinzi okulaba nti embalirira eno etuukiriza ebigendererwa ebiteereddwamu
Enteekateeka zino kuliko okulwanyisa obuli bwanguzi, okumalawo emiwaatwa gyokwonoona ensimbi, okuziba emiwaatwa abantu mwebayitira okwepena emisolo n’ebirala.
Ebissiddwako essira
-Okusitula eby’enfuna y’abantu mu maka
-Okutumbula eby’obulimi n’obulunzi ng’abantu balima ebirime eby’okutunda
-Okutandikawo amakolero
-okutuusa obuweereza obusaanidde ku bantu
-Okunoonya obutale
-Eby’empuliziganya eby’omutindio ogwawaggulu
-Okutondawo emirimu
-Okutondawo mikisa egiyamba businesses omuli okuzimba amakubo, amasannyaaze n’ebirala
-Eby’obulamu
-Eby’enjigiriza
-Eby’okwerinda
-Empuliziganya
Mu by’entambula; Government esuubira okuddaabiriza enguudo eziwera, okuzimba ebiddyeri, nga mu kiseera kino ebiddyeri 2 byebizimbibwa ku Nnyanja Bunyonyi, era nga bisuubirwa okutandika okukozesebwa mu June 2027.
Waliwo n’enteekateeka y’okugula ennyonyi 8 okwongera amaanyi mu kampuni y’eggwanga eya Uganda Airlines, ekisaawe ky’ennyonyi ekya Kabaleega International Airport nakyo kinaatera okuggyibwako engalo, so nga ne Kidepo International Airport ali mu nteekateeka.
Mu by’obulamu; Kaweefube agenda kussibwa kukugemesa abantu endwadde, okulwanyisa endya embi, okusitula eby’obulamu bw’abakyala n’abaana, okussa eddagala mu malwaliro,okulwanyisa endwadde eziva ku nneeyisa y’abantu, saako okusaawo enkola ey’okutuusa obujanjabi ku balwadde abali obubi.
Eby’ebyenjiriza n’emizannyo; Essira lissiddwa kukusitula ebyenfuna by’abasomesa, okuteekateeka ekikopo kya AFCON, n’okuyigiriza ebayizi eby’emikono n’ebirala.
President Yoweri Kaguta Museveni mu kwogerako eri eggwanga ku mukolo guno alabudde abantu abesenza mu ntobazi n’abakolera ku nguudo okwetoloola eggwanga lyonna nti tebageza nebaddako nti kubanga omukono ogw’ekyuma gwakubakolako.
ShareTweetPin
Namubiru Juliet

Namubiru Juliet

Recent Posts

  • Government ekkiriza okusasula ba Intern doctors ensako ya kakadde ka shs kamu buli mwezi
  • Abasajja 2 ababadde batemula aba bodaboda baakumala mu kkomera emyaka 150
  • NUP ne ANT eby’okugabana ku nsimbi za IPOD bikyaziηηamye – ebirala byagabanye buwumbi
  • Buddu ekubiddwa omupiira ogusoose – mu mpaka z’amasaza ga Buganda 2026
  • Gomba etangaazizza emikisa gyayo egy’okuva mu kibinja mu mpaka z’Amasaza ga Buganda 2026 – ekubye Ssese 2-1

Recent Comments

No comments to show.
CBS FM

Copyright © 2022 CBS FM.

Navigate Site

  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Follow Us

No Result
View All Result
  • ABOUT US
  • Bbingwa
  • BOARD OF DIRECTORS
  • Buddu Sacco
  • BUGANDA
  • Busiro Sacco
  • Cbs Fans Club
  • CBS FM 88.8
  • CBS FM 89.2
  • CBS PEWOSA Trade Fair
  • CBS-PEWOSA NGO
  • CBSFM Birthday 22 June
  • CONTACTS
  • DEPARTMENTS
  • Ebitongole byóbwakabaka
  • Entanda ya Buganda magazine
  • EVENTS
  • Eyeterekera Sacco
  • home
  • KALIISOLIISO DINNER 2025
  • Kyadondo Sacco
  • MANAGEMENT
  • Nkozi Accident Trauma Centre
  • Nsindikanjake Holdings Limited
  • ON-AIR PROGRAMS
  • Stromme Foundation

Copyright © 2022 CBS FM.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist