Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye naawa abaana 35 sikaala enzijuvu mu masomero agenjawulo, nga zino zaakumala emyaka ena miramba.
Abayizi abaweereddwa sikaala beebo abagezi ebitagambika kyokka nga bava mu maka agatayimiridde bulungi mu byÉnsimbi.
Bwabadde akwasa abaana bano sikaala mu Bulange e Mengo, minister wébyenjigiriza nÉbyobulamu Owek Chotildah Nakate Kikomeko yebazizza Ssaabasajja Kabaka olwÓmukwaano gwaalina eri abaana ba Buganda abato, neyeebaza olw’ensawo ya Ssaabasajja eya Kabaka education fund.
Owek Nakate Kikomeko annyonnyodde nti mu ntekateeka “Ekkalaamu Ngabo” Buganda erina essuubi nti Abaana baayo tebagenda kusigala kyekimu, naabasaba okubeera ekyokulabirako eri Ensi eno.
Akulira eyenjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda Omuk Letisha Nakimuli agambye nti newankubadde Abaana ba Buganda ne Uganda bangi bayambiddwaako Ensawo ya Ssaabasajja ku mutendera ogwa primary, secondary ne University, abaana ku mutendera gwa Nursery nabo balowozeddwaako, nga entekateeka eno etandikidde ku mbuga zÁmasaza.
Agamu ku masomero agawadde abaana Sikaala kuliko Mount St Henry’s High school Mukono, Buddo SS, Our Lady of Africa Lubiri High School Buloba, Nkowe High school, St Marks college Namagoma, St Elizabeth Girls Mityana, nÁmalala mangi.#