Ssaabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ll asiimye ekitongole ky’amawanga amagatte eky’eby’Obuwangwa ki UNESCO kisuumuse Amasiro g’e Kasubi omuli ennyumba Muzibwazaalampanga , kiddemu okutumbula eby’obulambuzi mu Bwakabaka ne Uganda yonna nga bwegwali mu 2001 lwegaatongozebwa.
Kalalaankoma abadde asisinkanye abakungu mu kitongole ky’Amawanga amagatte eky’Obuwangwa ki UNESCO, abakyaddeko mu Lubiri lwa Beene e Mengo, abali ku mulimu gw’okunga bakulondoola emirimu gy’Okuzzaawo amasiro wegituuse.
Masomooji mungeri eyenjawulo atenderezza olukiiko olwassibwawo okuzzaawo Amasiro ge Kasubi, lwagambye nti lukoze bulungi emirimu gyalwo.
Omutanda era asiimye government ya Uganda ne Japan olw’Obuvujjirizi bwezitadde mu kuzzaawo amasiro.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Owek Dr Haji Prof. Twaha Kawaase Kigongo, yebazizza Nyinimu olw’Okulambika kwakoze okuzzaawo Amasiro omuli n’Ennyumba Muzibwazaalampanga.
Akulira eby’Obulambuzi mu UNESCO Lazare Eloundou Assomo agambye nti omulimi gw’Okuzzaawo Amasiro wegutuuse guwa essuubi, era naategeeza nti Ennyumba Muzibwazaalampanga yakitiibwa nnyo munsi yonna , kuba eri mu Buganda wokka.
Ssentebe w’Olukiiko oluli ku mulimu gw’Okuzzaawo Amasiro Owek Haji Kaddu Kiberu agambye nti okuzzibwawo kw’Amasiro ge Kasubi kuzzizzaawo ekitiibwa kya Bajjajja abasooka, era neyeyama mu Maaso g’Empologoma nti omulimu guno gusigaddeko ebbanga ttono guggwe.
Omuteesiteesi Omukulu mu ministry y’ebyobulambuzi mu government eya wakati Doreen Katusiime, yebazizza olukiiko oluzzaawo Amasiro, olwokutuukiriza byonna ebyasalibwawo okussibwa mu nkola nga Amasiro tegannaddamu kuggulwa
awo.
Bisakiddwa: Kato Denis