Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’akola enkyukakyuka mu ba minister be, aliko bawummuza n’alonda n’abapya.
Katikkiro Charles Peter Mayiga ye Katikkiro wa Buganda.
Omumyuka asooka owa Katikkiro ye Owek.Twaha Kawaase Kigongo.
Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro ye Owek. Waggwa Nsibirwa.
Owek.Patrick Luwaga Mugumbule ye sipiika w’olukiiko lwa Buganda olukulu.
Owek.Ahmed Lwasa ye mumyuka wa sipiika w’olukiiko.
Ba minister abapya kuliko Omuk. Anthony Wamala abadde ssenkulu wa Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Mengo.
Anthony Wamala kati ye minisita w’Ebyobuwangwa, Embiri n’Ebyokwerinda, ekyabaddemu Owek. David Kiwalabye Male eyasabye okuwummula.
Owek. Kazibwe Isreal ye w’amawulire, okukunga abantu era omwogezi w’obwakabaka. ( abadde mukiise w’abavubuka mu lukiiko lwa Buganda)
Owek. Noah Kiyimba abadde omwogezi asigadde ye minister w’olukiiko, cabinet, abagenyi n’ensonga ez’enjawulo mu wofiisi ya Katikkiro.
Owek.David Mpanga abadde minister w’emirimu egy’enkizo, kati ye minister w’ettaka n’ebizimbe.
Owek.Mariam Nkalubo Mayanja ye minister wa bulungibwansi,obutondebwensi,amazzi n’ekikula ky’abantu.
Owek.Christopher Bwanika ye Ssaabawolereza y’obwakabaka n’ensonga zonna ezikwata ku by’amateeka.
Owek.Bwanika yabadde avunaanyizibwa ne ku government ez’ebitundu, kino kimujiddwako.
Owek.Joseph Kawuki afuuse minister omujjuvu owa government ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga z’ebweru wa Buganda.
Owek.Hajji Hamis Kakomo afuuse minister omujjuvu ow’obulimi, obwegassi n’obusuubuzi.
Owek.Cotilda Nakate Kikomeko ye minister omuggya ow’enkulakulana y’abantu, ebyenjigiriza, eby’obulamu ne wofiisi ya Nnabagereka.
Ministry eyo ebaddemu Owek.Prosperous Nankindu Kavuma awummudde.
Owek. Robert Sserwanga ye minister omuggya ow’abavubuka, eby’emizannyo n’ebitone.( eno ministry egiddwako eby’okwewummuza)
Ministry eyo ebaddemu Owek. Henry Ssekabembe Kiberu awummudde.#