Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II agguddewo olukiiko lwa Buganda okw’omulundi ogwa 31.
Emikolo gibadde ku mbuga enkulu mu Bulange e Mengo nga 21 August 2023.
Wasooseewo abakiise n’abaami be abaggya okweyanza obwami, okubasobozesa okutuula n’okuteesa mu lukiiko.
Omuteregga yebazizza abaami be abawummudde ate n’okwaniriza abaggya.
Ccuucu Magulunnyondo abakuutidde okubeera eky’okulabirako era abaggyayo ekifaananyi eky’obuweereza obulungi, Obuwulize era obumalirivu obutaliimu nkwe.
Twagala abavubuka baffe n’abantu bonna okwegomba obuweereza bwammwe n’okulaga nti tusobolera ddala bulungi okutuusa obuweereza obulungi eri abantu nga tugoberera amateeka.
Alagidde abantu bonna okwetegereza obuweereza bw’amaami ba Kabaka okulaba nga batuukiriza bulungi obuweereza bwabwe.
Obulimi
Nnyininsi Sseggwanga Musota akubirizza abantu be obutakoowa kwenyigira mu byabulimi, newankubadde nga wakyaliwo obuzibu mu by’obulimi naddala obutale n’okugwa kw’ebbeyi y’ebirime.
“Era tusaba ne government okutwala eby’obulimi ng’essomo ekkulu ennyo mu masomero, era kusomesebwe okutuuka mu senior, kisobozese abaana baffe okuyiga eby’obulimi nga bakyali mu masomero” – Ssaabasajja Kabaka Mutebi.
Ettaka
“Tukyawulira abantu baffe abasengulwa ku ttaka mu bitundu ebyenjawulo, ate bwebagenda mu mbuga z’amateeka kitwala ebbanga ddene okuwulira emisango gyabwe” – Ssaabasajja Kabaka
Sseggwanga Musota asabye abalamula emisango bawulirize emisango gy’ettaka mu budde obutono obusaanidde, era basalewo ku misango egyo mu bwangu.
Empalabwa ezeemu okulagira abaami be bonna n’abaweereza okuweereza mu bwesimbu baleme okuswaza Obwakabaka.#