Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuggulawo okulabikako eri Obuganda nga 28 omwezi guno ogwa May, okuggulawo emipiira egy’ebika bya Buganda egy’omwaka guno mu ssaza Bulemeezi.
Minister w’ebyemizannyo mu Buganda Owek Henry Moses Ssekabembe Kiberu, agambye nti empaka zino zigenda kuggulibwawo mu kisaawe kye Kasana Luweero, era ttiimu z’ebika ezigenda okuggulawo zigenda kulangirirwa mu bwangu ddala.
Owek Ssekebembe Kiberu agambye nti empaka z’omwaka guno zakutambuzibwa nga lyesigama ku nteekateeka empya eyakabagibwa, n’ekigendererwa ky’okuzizamu ettuttumu.
Mu mbeera yeemu obwakabaka butongozza olukiiko olupya olugenda okuddukanya empaka zino ekiseera kya myaka 3.
Ssentebe omuggya ye Hajji Magala Sulaiman era nga ye mwami w’essaza Butambala, amyukibwa Hajji Jamil Ssewanyana manager w’ekisaawe kye Namboole, n’omumyuka ow’okubiri akulira omupiira gw’okubaka ye Dr. Sarah Nkonge.
Omuwandisi Gerald Katamba, omuwanika ye Micheal Nsereko, ab’emirimu gy’ekikugu ye Mansoor Kabugo ne Rose Kaala.
Abamawulire ye Ntambi James omuwereza ku CBS ne Clive Kyazze Kalumba, abataka ku lukiiko luno bakiikirirwa Omutaka Nakigoye.
Rebeca Nassuuna yavunanyizibwa ku bannamukago n’abavugirizi,ate avunanyizibwa okusissa mu nkola ebbago empya ye Julius Kabugo.
Akiikirira abakyala ku lukiiko luno ye Catharine Nakigudde.
Owek Ssekebembe Kiberu yebazizza olukiiko olukadde olw’omulimu amakula gwe bakoze, ate n’asaba olukiiko olupya okukola ennyo okwongera okusitula ekitiibwa ky’empaka zino.
Emipiira gy’ebika tegizanyiddwa emyaka 2 egiyise olwa covid 19.
Embogo yeyasemba okuwangula engabo y’ebika mu 2019, yakuba e Kkobe goolo 1 – 0 mu kisaawe kya Masaka Recreation Grounds eyatebwa Nelson Ssenkatuuka.
Ekika kye Nnyonyi Ennyange kye kyawangula empaka z’okubaka,baakuba bazzukulu ba Gabunga obugoba 20 – 19.
Ebika ebizze biwangula engabo okuva mu 1950:
1950: Mbogo
1951: Ngabi Nsamba
1952: Mmamba Gabunga
1953: tezaategekebwa
1954: tezaategekebwa
1955: Kkobe
1956: Mmamba Gabunga
1957: Nyonyi Nyange
1958: Ngeye
1959: Mmamba Gabunga
1960: Ffumbe
1961: Bbalangira ne Kkobe
1962: Nkima
1963: tezaaliwo
1964: Mmamba Gabunga
1965: Mmamba Gabunga
1987: Ngabi Nsamba
1988: Lugave
1989: Mmamba Gabunga
1990: Lugave
1991: Ngeye
1992: Ngeye
1993: Nkima
1994: Mmamba Gabunga
1995: Lugave
1996: Mpindi
1997: Nnyonyi
1998: Lugave
1999: Lugave
2000: Mpologoma
2001: Ngo
2002: Mpologoma
2003: Mmamba Gabunga
2004:Lugave
2005: Ffumbe
2006: Mpindi
2007: Ngabi Nsamba
2008: Kkobe
2009: Ffumbe
2010: Nte
2011: Mmamba Gabunga
2012: Ngeye
2013: Ngabi Nsamba
2014: Mmamba Gabunga
2015: Mbogo
2016: Nte
2017: Nte
2018: Nkima
2019: Mbogo
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe