Eyaliko omuteebi wa club ya KCCA eya Uganda Premier League, Simon Tshishungu Kankonde, yegasse ku club ya Raja Beni Mellal, egucangira mu liigi y’ekibinja eky’okubiri mu ggwanga lya Morocco.
Simon Kankonde okugenda e Morocco avudde mu club ya ASEC Mimosas eya Ivory Coast gy’amaze ebbanga lya myezi 6 gyokka.
Abadde yabegattako mu mwezi gwa August 2024, ng’ava mu KCCA.
Club gy’agenzemu eya Raja Beni Mellal mu kiseera kino yekulembedde liigi y’ekibinja eky’okubiri e Morocco, n’obubonero 27 okuva mu mipiira 16.
Ekiseera Simon Kankonde kyeyamala ku club ya KCCA, yasanga akaseera akazibu ddala okunyweza enamba etandika ku ttiimu eno, era teyabandalawo n’agenda mu ASEC Mimosas mu Ivory Coast.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe