Government ya Sierra Leone eriko etteeka lyereese, nga kati kyabuwaze ebitongole byonna ebya government neby’obwannannyini okuwa emirimu abakyala ebitundu 30 ku buli kikumi awatali kwekwasa nsonga yonna.
Etteeka lino liruubirira okumalawo obusosoze mu mirimu n’enteekateeka endala zonna nnaddala ez’enkulaakulana.
Okusinziira ku minister w’ekikula ky’abantu mu ggwanga eryo, Manty Tarawali, era kati kyabuwaze n’abakyala bannakawere okuweebwa oluwummula lwabwe lwa wiik 14 oba emyezi 4 n’ebirala ebigenderako.