Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abazadde okunyiikira okuweerera abaana abawala nga bwebakola ku balenzi, nti kubanga balina obusobozi obutereeza ensi eno bwebaweebwa omukisa.
Katikkiro agambye nti abaana abawala bwebawebwa ebyetaaga by’amasomero era nebasoma omutuuka ku madaala g’ebyenjigiriza aga waggulu bingi byebasobola okukola.
Katikkiro abyogeredde Mutungo mu Maka g’Omugenzi Owek Kaaya Kavuma n’Omukyala Miriam Kavuma, bwabadde agenze okubakubagiza olw’Okufiirwa mukamwana Zebib Solomon Kavuma.
Zebib abadde mumyuka w’akulira ekitongole ky’Amawanga amagatte ekikola ku nsonga z’abakyala ki UN Women ekitwala ettundutundu lya East ne Southern Africa.
Zebib Solomon Kavuma abadde mukyala wa Paul Robert Kavuma mutabani w’Omugenzi Owek Kaaya Kavuma, atenderezaddwa olw’obuweereza obw’enkizo eri abakyala munsi yonna, ng’abadde alafuubanira obwenkanya eri abantu bonna awatali kusosola.
Zebib Solomon Kavuma agenda kusabirwa mu kanisa ya St Phillips Church e Sagala Buwaya mu Busiro oluvannyuma aziikibwe e Buwaya mu ssaza Busiro.
Bisakiddwa: Kato Denis