Government ezeemu okulabula amasomero agasomesa abayizi mu kiseera eky`oluwummula, nti gakukwatibwako n’omukono ogw’ekyuma.
Okulabula kuno kujidde mu kiseera ng’Olusoma oluno olusooka omwaka olwatandika nga 5th February , lugenda kukomekerezebwa ku Friday nga 3rd May,2022.
Minister Omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Dr.Joyce Moriku Kaducu, abadde ku media centre mu Kampala n’agamba nti abayizi bamaze ekiseera kinene nga basoma, n’olwekyo balina okuweebwa akadde akamala ak’okuwummula n’okuzannya.
Mu ngeri yeemu government erangiridde nti olunaku lwa nga 30th April, Uganda egenda kulukuza ng’olunaku lw’abayizi olw`okuzannya.
Ebikujjuko ebikulu bigenda kubeera ku Kisaawe e Kololo, era nga minister webyenjigiriza n’ebyemizanyo era mukyala w`omukulembeze w’eggwanga Janet Kataha Museven, yagenda okubeera omugenyi Omukulu ku mukolo guno.
Government era agamba nti olusoma olusooka omwaka amasomero gasumbuyiziddwa ekirwadde ky’amaaso ekya Red Eye, ate ‘agamu amasomero negasumbuyibwa omuliro ogwagakwata.
Bisakiddwa: Musisi John