Ekibiina ekiddukanya omupiira ku semazinga Africa ekya CAF kikkiriza ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA okutegeka emipiira 2 mu kisaawe kye Namboole, ng’emu ku ntegeka y’okukigezesa nga tekinaba kuggulwawo mu butongole.
Kino kye kimu ku bisaanyizo CAF byesaba okukkiriza ekisaawe kyonna okuzannyirwamu emipiira egiri ku mutendera gw’ensi yonna.
FUFA eronze emipiira 2 egya Uganda Premier League, era gigenda kuzanyibwa mu kisaawe e Namboole nga 01 May,2024.
Omupiira ogujja okusooka okuzanyibwa mu kisaawe e Namboole, BUL egenda kuttunka ne Vipers kusaawa 10 ez’olweggulo ate kusaawa 1 eyakawungeezi ku bitaala KCCA ejja kuzuzumba ne Villa Jogo Ssalongo.
CAF ejja kusinziira ku mipiira gino nga giwedde okusalawo oba ng’ekisaawe kino kiddamu okuzanyirwamu emipiira egiri ku mutendera gw’ensi yonna.
Ekisaawe ky’e Namboole kibadde kyayimirizibwa mu 2020 olw’embeera embi gye kyalimu, era government yayisa ensimbi obuwumbi bwa shs 97 okutandika okukiddaabiriza, era omulimu guno kumpi guwedde.
Omulimu gw’okuddabiriza ekisaawe kino gukolebwa ekitongole ky’amagye ga Uganda ekizimbi ekya UPDF Engineering Brigade.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe