Obwakabaka bwa Buganda bwagala abalungamya b’emikolo ne ba katumwa okwongera okwettanira emisomo egigenderera okubabangula mu nsonga z’obuwangwa n’ennono, kiyambe okukuuma ekitiibwa kya Buganda nga tekittattaniddwa.
Minister w’obuwanga, ennono, Embiri, Amasiro, Obulambuzi, Olulimi Oluganda n’ebyokwerinda mu Buganda Owek Dr. Anthony Wamala, bino abitisse Ssaabagunjuzi w’Ekisaakaate kya Nnaabagereka Owek Dr. Rashid Lukwago mu kuggalawo Ssemasomo w’abalungamya b’emikolo ow’omulundi ogw’okutaano abumbujjidde ennaku bbiri ku Buganda Royal Institute of Business and Technical Education e Kakeeka Mmengo.
Owek. Dr. Anthony Wamala era asabye ababanguddwa okwagazisa bannaabwe abatannaba kwettanira nteekateeka eno.
Abasabye okweggyamu obuzeezeze obuswaza ekitiibwa kyabwe ng’abantu ate ne Buganda gyebakiikirira.
Babadde mu Ssemasomo w’abalungamya b’okumikolo ow’omulundi ogw’okutaano, nga ku mulundi guno bagasseemu ne ba katumwa abazze beemulugunyizibwako olw’okutyoboola emikolo egy’ennono nga bakoleramu ebitajja nsa.
Ababanguddwa era nebatongozebwa baweereddwa ebibasaaniza okukola omulimu guno ku lwa Buganda nga kuliko, Endaga mwogezi (ID) Tag, n’ebbaluwa okuva mu Buganda Royal Institute of Business and Technical Education eya DIT.
Ssentebe w’abalungamya b’okumikolo Ismail Kaggya agambye nti mu Buganda balina abalungamya 1315, nga ku bano 878 bazze batendekebwa mu Ssemasomo ono, era baatongozeddwa okukulemberamu okulungamya emikolo gy’okwanjula, embaga, n’emirala egy’obuwangwa.
Ba katumwa ababanguddwa beeyamye okukyusaamu mu byebabadde bakola nti kubanga babadde bingi babikola lwa butamanya.
Bisakiddwa: Kamulegeya Achileo K.