Initiative for Social and Economic Rigts, (ISER) kifulumizza alipoota eraze nti Government ensimbi zeyateekawo okukwasizaako abakadde okwekulakulanya n’okweggya mu bwavu mu nkola eya Social Assistance Grant’s for Empowerment, (SAGE), nti teziganyudde bakadde kimala nga naabandi ssente zino tebazifunangako.
Buli mwezi government ewa abakadde abawezezza emyaka 80, emitwalo gya shs 25,000 mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo, n’abawezezza emyaka 65 mu bendobendolye Karamoja, nti kyokka abasinga obungi ssente zino tebazifunangako.
Bino bibadde mu alipoota eyakoleddwa ekitongole kya Initiative for Social and Economic Rigts, (ISER), eyakizudde nti abakadde bangi abalina n’endaga muntu naye ng’ensimbi tebazifuna, so nga n’abazifuna batwala ekiseera kiwanvu nga tebazifunye.
Government egamba nti okuva enteekateeka eno lweyatandika okuteekebwa mu nkola, obwavu mu bakadde bwakendeera n’ebitundu 20%, wabula alipoota ekoleddwa aba Initiative for Social and Economic Rights, (ISER) bagala ensimbi zongezebwe okutuuka ku mitwalo 40,000 , olwo enkulaakulana yeyongere okulabika okutuuka wakiri ku bitundu 35%.
Kembabazi Alana, akulira eby’emirimu mu kitongole kya Initiative for Social and Economic Rights, (ISER), ne Dr. Juma Nyende, ssentebe w’olukiiko olufuzi olw’ekitongole kino, basinzidde ku Golden Tulip hotel mu kusoma alipoota eno, nebagamba nti ensimbi emitwalo 25,000 eziweebwa abakadde mu nteekateeka emaze kati emyaka ejisoba mu 10 tezikyamala olw’ebbeeyi y’ebintu eyeyongedde okulinnya ebbeeyi.
Dr. Juma Nyende ssentebe agamba nti singa ensimbi zino tezirowoozebwako bunnambiro Uganda ejjakuba emenye amateeka geyateekako omukono, agatwala ensi eziri mu mukago gwa African Union agamanyiddwa nga Protocol to the African charter on human and rights of citizens to Social protection and social security, agaayisibwa oluvanyuma lw’ensi okukosebwa ekirwadde kya Covid 19.
Wabula kaminsona mu ministry y’ekikula ky’abantu, Bernard Mujuni, agamba nti olw’okuba government ya Uganda tenateekawo tteeka lyayo erirungamya enteekateeka eno ey’okuwa abakadde ensimbi, nti kyevudde etambula akasoobo, olw’obutafuna kulungamizibwa kumala.
Bisakiddwa: Ddungu Davis