Government eyolekedde okwengezaayo nate nsalasale gweyasaawo eri bannayuganda abalina emmotoka okugula enamba plates endigito ,olwemisoso egitali gimu egitanatuukirizibwa.
Government mu mwaka 2021, yateeka omukono ku ndagaano ne kampuni ya Russia eya Ms Joint Stock Complany Global security okukola enamba plates endigito, n’ekigendererwa eky’ebitongole by’ebyokwerinda okulondoola ebidduka byonna mu ggwanga okunyweza ebyokwerinda
Government ezze eyongezaayo nsalesale ono, nga nensalesale akyaliwo yewa nga 1 July,20204 bannayuganda okutandika okugula namba plates zino endigito, naye akyayolekedde okwongezebwalayo olw’emisoso egitanatuukirizibwa.
Minister omubeezi ow’ebyentambula Fred Byamukama agamba nti baasalawo batandike n’emmotoka za government zonna, nga baatandika ne mmotoka za police zonna, nga mu kiseera kino bali ku za ministry y’ebyobulamu naddala eza Ambulance.
Wabula minister Fred Byamukama agamba nti singa omwezi gwa July gunaatuuka ng’emisoso egirina okulambikibwa ekitongole ky’emisolo ekya URA, teginakolebwako nsalesale wakwongezebwayo.
Buli munnansi Alina emmotoka wakusasula shillings 714,000 okugula namba plate endigito.
Ebiwandiiko bya ministry yebyentambula biraga nti eggwanga lirimu emmotoka ezisoba mu kakadde akalamba.
Kampuni ya Russia Ms Joint Stock Complany Global security egenda egenda okukola ku nsonga eno yakukungaanya ensimbi ezisoba mu buwumbi 150 mu kutunda namba plates zino endigito.#