Ababaka ba parliament abatuula ku kakiiko akavunanyizibwa ku mbalirira y’eggwanga batabukidde minister omubeezi ow’ebyensimbi Henry Musaasizi , ttagali avudde ku kiwandiiko ekyatwaaliddwa mu kakiiko kano okuva mu ministry y’ebyensimbi ekirambika embalirira ey’ennyongereza government gyeyasabye parliament eyise , ya trillion 1 n’obuwumbi 110 eza shilling.
Ekiwandiiko kino kyayanjulwa minister omubeezi ow’ebyensimbi Amos Lugoloobi wiiki ewedde, era ababaka babadde batudde mu nsisinkano eyenjawulo e Munyonyo okukyetegereza, wabula Minister omubeezi ow’ensimbi Henry Musaasizi bwaweereddwa omukisa okunyonyola ku kiwandiiko kino kwekusaba ababaka beesonyiwe egimu ku miko egibadde mu kiwandiiko ekyatwalibwa mu parliament ekiviiriddeko ababaka okwekengera.
Abamu ku babaka basabye ekiwandiiko kino kyonna kiwandukululwe mu kakiiko nti kubanga kyandibaamu ebitali bituufu, minister yennyinyi bwaba atankana ebimu ku bikibaddemu.
Ibrahim Ssemujju Nganda omubaka wa Kira municipality, Kareem Masaaba omubaka wa Mbale City West saako Geoffrey Ekanya omubaka wa Tooro North basimbidde ddala nakakongo nga bagamba nti tebalina kugenda mu maaso na kukubaganya birowoozo ku kiwandiiko ekiriko akabuuuza.
Ssentebe wakakiiko kano era omubaka wa Kachumbala Patrick Opolot Nsiagi alabye guli gutyo, ensisinkano y’akakiiko agiymirizza okumala akabanga minister asobole okwetegereza ekiwandiiko mu bujjuvu.
Ensimbi ezenyongereza kuliko obuwumbi 578 government zeyagala okuwa eyeyita musiga nsimbi owa Dei Pharma Mathias Magoola okuzimba ekkolero e Kawanda erikola eddagala ly’omusujja.
Obuwumbi 13 bugenda mu kitongole ki KCCA okusasula abakozi abeera enguudo.
Obuwumbi 3 bugenda mu ministry y’ekikula kyabantu okuteekateeka olunaku lw’abajulizi e Namugongo
Obuwumbi 13 bugenda kuweeebwa amaka gobwa president zissibwe mu nsawo etatunulwamu, so nga obuwumbi 129 zigenda kusasula kasiimo kaabaaliko abakozi ba government aka Gratuity ne pension.
So nga obuwumbi bwa shs 9 bugenda mu kitongole kya Police.
Ensimbi zino government ezaagala okuzikozesa mu kiseera ng’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 gubulako emyezi 3 gyokka gugweeko, nga n’embalirira y’eggwanga ey’omwaka oguggya 2024/2025 enaatera okuyisibwa parliament.