Omuzannyi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abakazi eya Crested Cranes, Sharon Namatovu, yegasse ku club ya Gokulamu Kerala egucangira mu liigi ya babinywera eya Buyindi.
Sharon Namatovu mu club yeemu yegasse ku munnauganda omulala Fazila Ikwaput azannyira mu club eyo.
Namatovu asuubirwa okuzannya omupiira gwe ogusooka ku Sunday nga 09 March,2025, Gokulamu Kerala bwenaaba ettuunka ne Nita mu liigi ya Buyindi ey’abakazi.
Omuwendo gw’abawala abazannyira e Buyindi gweyongeddeko, nga abalala abaliyo ye Resty Nanziri, Haddijjah Nandago, Amina Nababi ne Joanita Ainembabazi.
Mu Uganda Sharon Namatovu azannyiddeko ttiimu okuli Uganda Martyrs ne Muteesa I Royal University ne Makerere University.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe