Ttiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’okubaka eya She Cranes ekutte ekifo kyakusatu mu mpaka za Vitality Netball Nations Cup ezibadde ziyindira mu kisaawe kya Copperbox Arena Stratford London mu Bungereza.
She Cranes okuwangula omudaali gw’ekikomo ekubye Malawi obugoba 50 ku 45.
Abategesi aba Bungereza be bawangudde empaka zino, nga bakubye South Africa ku final obugoba 61- 55.
Empaka zino zetabwamu amawanga 4 okuli abategesi aba Bungereza, South Africa, Malawi ne Uganda.
Uganda She Cranes mu mpaka zino ewanguddeyo omuzannyo gumu gwokka gwe kubye Malawi mu kulwanira ekifo eky’okusatu.
Mu mizannyo gya She Cranes egyasooka gyonna 2 yakubwa Malawi obugoba 59 ku 49, ate nga South Africa ye yasooka okukuba She Cranes obugoba 75 ku 40.
Abategesi aba Bungereza bakubye Uganda obugoba 59 ku 48, era be balemesezza She Cranes okugenda ku final.
Omutendesi wa She Cranes Rashid Mubiru yatwala ttiimu yabazannyi 13 okuvuganya mu mpaka zino.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe