Omuzibizi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere ey’abakazi eya Crested Cranes, Shadia Nankya, yegasse ku club ya Washington Spirit egucangira mu liigi ya babinywera eya America.
Shadia Nankya atadde omukono ku ndagaano ya myaka 4 ng’acangira club eno endiba.
Club eno Washington Spirit eri mu kibinja kya National Women Super League.
Yeemu ku club ezaatandika liigi eno mu 2012, era yawangula ekikopo kyayo ekisooka mu 2021.
Shadia Nankya okugenda mu America avudde mu club ya Masar eya Misiri, nga yabadde musaale nnyo mu kuyambako club eno okukwata ekifo eky’okusatu mu mpaka za CAF Women’s Champions League.
Nankya tagenda kukoma kuzannya mupiira mu America, wabula agenda kweyongerayo n’emisomo gye.
Yegasse ku bannauganda abalala abawala abazanyiddeko mu America okuli Sandra Nabweteme, Sandra Nantumbwe, Sharon Naddunga, Asiat Naluggwa n’abalala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe